N'ekigendererwa oky'okutugumbula Kabaka wa Buganda, Edward Muteesa II, eyaliko mu kiseera ekyo. Bingi byabaawo nga bwe bizze biddinganwa. Kabaka yawanganguka, era n'afiira e Bungereza.
Wabaddewo okusaba okw'enjawulo ku Lutikko ya Orthodox, eya St. Nicholas, e Namungoona, nga kukulembeddwamj Ssaabasumba Jeronymos Muzeeyi.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek.Patrick Luwaga Mugumbule, yabaddewo ku lw'Obwakabaka, n'atuusa obubaka bwa Katikkiro, mwategeerezza nti ekikolwa ekyo kyaleka kitabangudde embeera z'abantu, eddembe n'essanyu lya Buganda, n'okukendeeza obwesige mu Bannayuganda.