Minisita Kazibwe nabakulembeze okuva e Buddu
Minisita Kazibwe asabye banna Buddu okunyweza ensonga ez'omulembe omuggya ezasoosowazibwa.
Bino bibadde mu bubaka Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, bwatisse banna Buddu kulwa Katikkiro, abakiise embuga mu nkola ya luwalo lwaffe.
Obunyiikivu, obwerufu, obuyiiya, okukola nokwagala, y'entanda gyatisse abantu ba Beene abavudde mu Ggombolola ya Mutuba 22 Kitanda, Mutuba 21 Lwabenge, ne Mutuba 15 Kirumba abaleese oluwalo lwa bukadde obusoba mu 14.
Abalabudde ku bulwadde bwa mukenenya obweyongedde ennyo naddala mu bitundu bye Buddu, n'abasaba okubwekuuma.
Minister Kazibwe nga ayogerako eri bana Buddu
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, abeebabazizza okuleeta abaana abato basobole okuyiga obuwangwa n’ennono zaabwe ekigenda okwongera okutwala Buganda mu maaso.
Sheikh Swaibu Kasonso omukiise mu lukiiko lwa Buganda nga yakiikiridde Pookino, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw'okubazimbira eddwaliro e mukungwe ekibongedde essuubi mu kufuna obujjanjabi obutuukiridde.
Omubaka omukyala owa Bukomansimbi, Dr. Ndiwalana Christine, akubirizza banna Buddu okutwala ensonga y'okwekuuma mukenenya nga nkulu ddala.