Amasaza gaakuweebwa 3% ku nsimbi ze bakungaanya mu Luwalo buli mwaka, ziyambeko okutambuza emirimu mu masaza.
Bino byogeddwa Minisita Omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Kabaka, Oweek Joseph Kawuki, ku mukolo Katikkiro kw’atongolezza Oluwalo lw’omwaka guno, mu Bulange.
Minisita agambye nti eggombolola erinasinga okuleeta Oluwalo lya kuweebwanga ebbaluwa ebasiima; ssaako obutebe 100, ne weema, babikozese okujjamu ensimbi ezitambuza emirimu. Eggombolola eneesinga obujjumbize yo ejja kuweebwanga pikipiki, so nga essaza ly’ebweru erinaasinga lijja kuweebwanga ebbaluwa ebasiima n’ekifaananyi kya Kabaka.
Oweek. Kawuki, yeebazizza nnyo abaami ba Kabaka olw’okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo n’evaamu ebibala.

Oweek Joseph Kawuki wakati akuba engoma nga atongoza oluwalo lw’omwaka guno, mu Bulange.
