Katikkiro Charles Peter Mayiga, aggaddewo Olusirika lw'Abakulembeze b'Obwakabaka olumaze ennaku ebbiri ku Butikkiro, e Mengo.
Abasabye okufuba ennyo okukyusa engeri abantu gye balamu ebintu, okusobola okutuukana n'omulembe gwetulimu ng'abantu balina bye bakola ebiyingiza ensimbi, berwaneko bagobe obwavu n'okwewala okusabiriza obuyambi.
Abakuutidde okussa essira ku kutumbula ebyobulamu; ebyenjigiriza; obulimi; tekinologiya, ate n'okussa omulaka ku buwangwa; ennono n'obuntubulamu mu baana.
Abawadde amagezi okwekubiriza, bakole emirimu bagigguse.
Oluvannyuma abagabudde n'okubasanyusaamu.