
Owek. Robert Serwanga (wakati) ng’ali n’abakulembeze b’Abavubuka oluvannyuma lw’okusooka kw’olusirika.
Obwakabaka bwa Buganda butegese olusirika lw’abakulembeze b’Abavubuka mu Buganda lwa nnaku ssatu, mwe bagenda okubangulibwa ku kulwanirira obukulembeze obuluŋŋamu.
Olusirika luno luwomeddwamu omutwe Minisitule y’Abavubuka mu Bwakabaka bwa Buganda, ekwataganye n’Ebitongole ebitakabanira obukulembeze obuluŋŋamu, era abavubuka baweereddwa emisomo ku ngeri gye basobola okulondoola n’okukebera Gavumenti okulaba nti obuweereza bwayo obw’enjawulo butuuka ku bantu mu bwerufu nga bwe buba bulambikiddwa.
Minisita w’Abavubuka mu Buganda, Owek. Robert Serwanga, bw’abadde atongoza olusirika luno ategeezezza nti Buganda erekebwa nnyo emabega mu mpeereza za Gavumenti ez’enjawulo, ate nga n’ezimu tezituukirizibwa nga bwe ziba zirambikiddwa, endala tezituukira ddala. Agamba nti eno y’ensonga lwaki abavubuka mu Buganda balina okusitukiramu okubanja obuweereza nga amalwaliro, amasomero, amakubo n’ebirala bikolebwe ate nga bya mutindo.
“Abakulembeze b’Abavubuka tubakuŋŋanyiza mu lusirika olw’ennaku ssatu nga babangulwa ku ngeri gye bayinza okulondoola emirimu egikolebwa, n’okusaba ebyetaaga okukolebwako mu bitundu gye babeera ne gye bava, balage ebikoleddwa obulungi n’okuloopa ebyo ebitakoleddwa bulungi,” Minisita Serwanga.
Minisita Serwanga agamba nti Obwakabaka mu nteekateeka yaabwo ey’okusoosoowaza abavubuka mu buli nsonga, y’ensonga lwaki abavubuka babanguddwa okumanyisibwa engeri entuufu gye basobola okulondoola obuweereza bwa Gavumenti nga balina bulungi ebibalo n’okumanya ku nsonga ezitali zimu. Bwatyo yebazizza ebitongole ebikwataganye n’Obwakabaka ku nsonga eno era asabye kino kisaasaane ne bitundu bya Uganda byonna.

Owek. Robert Serwanga ng’abulirira Abavubuka.
Amyuka Kaliisoliiso wa Gavumenti ya Uganda, Dr. Patricia Achan Okiria, abadde omusomesa omukulu ku lunaku olugguddewo ategezezza nti omusomo guno eri abavubuka gusobolera ddala okuyamba okunyululwa eggwanga mu nguzi eyitiridde, singa abavubuka batambuza enjiri okuviira ddala ku byalo buli muntu atandikirweko okulwanyisa ebikolwa eby’enguzi.
“Nkowoola abavubuka okwetaba mu lutalo lw’okulwanyisa enguzi, nga baloopa ebikolwa ebikyamu, okulondoola emirimu n’obuweereza bwa Gavumenti, ate nabo okubeera eky’okulabirako bagaane okukwata enguzi wadde okugiwa abagisaba,” Dr. Achan.
Dr. Achan ajjukiza abakulembeze abali mu bifo eby’enjawulo okujjukira nti ekikulu ekibasuubirwamu kwe kuweereza abantu so si kwejalabiza mu zi woofiisi. Alaze obwenyamivu ku bibalo ebiraga nti kumpi obuse 10 mu nsimbi za Uganda ze zibulira olw’enguzi buli mwaka, ekireseewo okuziŋŋama mu byenjigiriza, ebyobulamu n’enkulaakulana endala mu ggwanga. Bwatyo asabye abavubuka n’abantu abalala bonna obuteetulako, wabula babeeko kye bakola naddala okulondoola obuweereza bwa Gavumenti.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, munnamateeka Derrick Kavuma, yebazizza Minisitule ebatwala n’ebitongole ebibwegasseeko okulaba nti wabaawo okutereeza eggwanga ng’Abavubuka be bakutte omumuli. Ono awadde obweyamu nti baakufuba okuteeka mu nkola ebyo ebibasomeseddwa okulaba nti nabo benyigira mu kutereeza eggwanga lyabwe.
Abavubuka mu lunaku olusoose bafunye emisomo okuva mu basomesa abavudde mu woofiisi y’Omubalirizi w’Ebitabo bya Gavumenti, abavudde mu woofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti n’ebitongole ebirala, okuli eky’Abajulayi ekya GIZ. Olusirika luno lujja kukomekkerezebwa ku Lwokutaano nga 22/08/2025.