
Katikkiro Mayiga ng’ayogera mu lusirika ku by’okukulaakulanya abavubuka
Olusirika lw’abakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda lutandise ku ssetendekero wa Muteesa I Royal University e Kakeeka, Mengo.
Lutambulira wansi w’omulamwa ogugamba nti: "Okusoosowaza Omuvubuka mu Nteekateeka n’Okussa mu Nkola Pulogulaamu.”
Abetabye mu lusirika luno kuliko:
– Ba Minisita b’Obwakabaka
– Abataka abakulu ab’obusolya
– Ba Ssentebe ba bboodi ez’ebitongole by’Obwakabaka
– Abaami b’amasaza
– Ba Ssenkulu b’ebitongole
– Abamyuka ba Abaami b’amasaza
– Abakwanaganya n’abateesiteesi b’emirimu egy’enjawulo ku masaza
Olusirika luno lusuubirwa okuwa abakulembeze b’Obwakabaka obukugu, obulambika n’enkola esobola okuyamba mu kuteekateeka, okunoonyereza n’okutuukiriza pulogulaamu ezigenderera ku maanyi g’abavubuka.