Abantu nga balindirila okufuna obujanjabi
Abantu abasoba mu 723 be bafunye obujjanjabi obwenjawulo mu lusiisira lwebyobulamu olumaze ennaku bbiri mu Ssaza Busujju.
Ku bano abasajja 65 babakebedde obulwadde bw'akatungulu (Prostate cancer).
Bwabadde aggalawo olusiisira luno mu town council ye Zigoti, Minisita avunaanyizibwa ku byobulamu nenkulaakulana y'Abantu, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, yeebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw'okujjanjaba abantube basobole okubeera abalamu.
Era yeebazizza eggwanika lya Buganda erivujjiridde olusiisira luno wanu ne banna mikago, okuli, Rotary Club ye Kyambogo, eddwaliro lye Mengo, Jacinta Health Center, abakulembeze ku mitendera egyenjawulo olw'obuwagizi eri enteekateeka eno