
Abavubuka nga bali n’Owek. Ssaalongo Robert Sserwanga
Olusiisira lw’Abavubuka ba Buganda olutegekebwa buli mwaka mu Bulaaya 2025
Abavubuka Abaganda, n’abo abalina akakwate ku Bwakabaka bwa Buganda nga bawangaalira ku lukalu lwa Bulaaya, bakungaanidde mu kibuga Stockholm ekya Buswedi (Sweden) e Flottsbro okwongera okunyweza ensibuko n’obuwangwa bwabwe.
Omulamwa: “Okwegatta awamu tusobola okukuuma obuwangwa bwaffe.”
Olukungaana luno lubaawo buli mwaka, nga ne ku mulundi guno lwetabiddwamu abavubuka okuva mu mawanga okuli Sweden, Netherlands, Bungereza n’amalala.
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Ssaalongo Robert Sserwanga, ye yabadde omugenyi omukulu, era asibiridde abavubuka bano entanda y’okufuba okumanya obuwangwa bwabwe kubanga eyo y’ensibuko yabwe.
Omubaka wa Kabaka mu Ssaza lya Scandinavia, Owek. Nelson Mugenyi, yeebazizza Minisita Sserwanga olw’okubakyalira, era n’ategeeza nti kaweefube w’okumanyisa abavubuka abali ku mawanga obuwangwa bwabwe bamukutte kannabwala.
Enteekateeka y’olukungaana luno ekulembeddwamu Omukiise w’Abavubuka ku Lukiiko lw’Essaza lya Scandinavia, Paul Ntambi, n’Omuwandiisi w’Essaza, Mervyn Kagimu.