
Owek. Joseph Kawuki nga ayogerako eri Abantu ba Kabaka.
Minista wa Gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda Ebweru Oweek. Joseph Kawuki akubirizza abantu ababeera ebunaayira okukola enteekateeka eŋŋenderere eya buli lukya okusomesa n’okunnyikiza obuwangwa n’ennono za Buganda mu baana n’abavubuka.
Owek. Kawuki akinoganyizza nti kino kirina kukolebwa lutentezi kiyambe okuteekateeka abaana n’abazzukulu ba Buganda basobole okulwanirira n’okukulaakulanya Ensi yaabwe gye bategeera obulungi.Minisita Kawuki bino abyogeredde mu kibuga East London mu ggombolola Eastern Cape ey’essaza Cape province mu South Africa gye yetabye mu kukuza olunaku lw’Essaza lino.Eno
Eno gy’asinzidde n’okutongoza enkiiko z’eggombolola eya Eastern Cape, Western Cape, ssaako olukiiko lw’ekibiina kya Abaana ba Buganda olukulemberwa Mw. Levinson Kiggundu.
Owek. Kawuki akubirizza abakulembeze bano okubeera abatetenkanya okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu. Wano era alabudde abantu ba Kabaka ku bantu abefunyiridde okusaanyawo Obwakabaka nga bayita mu kubusekeeterera, bwatyo n’abakuutira okwefumiitirizanga ku buli nsonga n’obutakyamuukirira ku buli kye bawulira.
Abaami ba Kabaka abakuutidde okunyiriza emirimu gye bakola egivaamu ensimbi basobole okulya ensi gye baweerereza ate n’okuzimba Buganda gye basibuka.

Abaana abato nga balaga ebyambalo by’obuwangwa bwabwe.
Omwami w’essaza Cape Province Owek. Dennis Lugoloobi ategeezezza nti enteekateeka eyabakuutirwa okusigira awamu ensimbi baagitandika era mu kiseera kino balina enteekateeka za mirundi ebiri mu ntereeza eno. “Talina ebibiina bibiri; ekya Buganda Twezimbe era twasobola okugula ettaka mu Western Cape Endovern ku Rand 400,000 era tuteekateeka kuzimbamu kizimbe ate abakazi baakakuŋŋaanya Rand 2,000,000 ze bateekateeka okusiga”.
Ono era akubirizza abakulembeze abaggya okunnyikiza ensonga za Buganda mu bantu ku mitendera gyonna.
Loyda Kateregga Mwami wa gombolola Eastern Cape akkaatirizza nti obumu bunywedde era enkiiko zituula mu buntu ne ku mutimbagano era kino kisobozesezza abantu okuva mu bibuga ebyenjawulo okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka.
Ssentebe w’Abaana ba Buganda Eastern cape mw. Levinson Kiggundu ategeezezza nti basimbudde tebakyaddamu kubongoota, era bagenda kwongera okufuba okugatta ku kiruubirirwa eky’okuzza Buganda ku Ntikko.
Omukolo guno gwetabiddwako owa ggombolola Western Cape, Mariam Nandyosse Kavuma, ssentebe b’ebibiina bya Buganda mu South Africa okuli James Kamya Kasookaboogera owa Baanabakintu okuva e Gauteng, n’abalala ssaako abantu ba Kabaka abasobye 200.