
Bendera eraga Nnaabagereka n'omuzadde n'omwana, ng'eraga omulamwa ogugamba nti: "Eddoboozi ly'abaana likulu nnyo mu nkulaakulana ya Buganda
Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nasejje, Minisita w’Ekikula ky’Abantu n’Obutondebwensi mu Bwakabaka, asabye abazadde obutalekerera abaana baabwe. Akuutidde abazadde nti balina okukuuma abaana baabwe n’okubakwasizaako basobole okufuuka abantu ab’omugaso mu nsi.
Bino abyogedde ng’asisinkanye olukiiko oluteesiteesi olw’Olunaku lw’Abaana mu Buganda olugenda okubaawo wiiki ejja nga 12 mu Lubiri e Mengo.
Owek. Nkalubo agambye nti abazadde balina okugoberera abaana baabwe n’okumanya ebizibu bye basanga mu bulamu. Yabalabudde ku mukwano ogusukiridde eri abaana kubanga guyinza okukosa enkula y’obulamu bwabwe.
Yasabye amasomero okuleta abaana ku lunaku olwo kubanga waliwo bingi bye bajja okuyiga okuva mu boogezi ab’enjawulo.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka, Esther Nakafu, ategeezezza nti abazadde bagenda kuganyulwa nnyo olw’okuyiga ku nsonga ezikwata ku baana baabwe, ekisobozesa okukyuusa obulamu bw’abaana.

Owek. Mariam Mayanja Nkalubo Nasejje ng’ayogera mu nsisinkano n’akakiiko akateekateeka Olunaku lw’Abaana mu Buganda 2025 ku Lubiri e Mmengo
Nakafu yannyonnyodde nti ku lunaku olwo wakubaawo okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku baana n’ensonga ezibaluma, abakwatibwako basobole okuzitegeera bulungi.
Emikolo gino gisuubirwa okwetabwako Nnaabagereka Sylvia Nagginda, nga w’osubirwa n’amasomero agasoba mu kinaana galeta abayizi okwetaba mu nteekateeka eno.
Olunaku lw’Abaana mu Buganda 2025: Lugenda kubeerawo mu Lubiri e Mengo ku Lwokusatu lwa ssabbiiti ejja nga 12/02/2025.