Mutabani we Nelson Kikubira yamusikidde.
Nabwami Shamim ye Lubuga.
Mu kiseera kyekimu, Isaac Mulumba, ateereddwako nga omusika wa Nelson Kiragga.
Bwabadde ayogerako eri abantu abeetabye mu lumbe luno, Katikkiro Charles Peter Mayiga, yeebazizza ab'enju okuyita mu mitendera emituufu mu kwabya olumbe.
Akubirizza abantu okunyweza obuwangwa bwabwe.
Ategeezeza nti tusaanye okunyweza ebika byaffe kulw'obulungi bw'emirembe egirijja, tujjumbire okwabya ennyimbe, tutambulire ku nnambika entuufu ey'okwabya ennyimbe, basumike embugo, basimbe emiti nga bwekyalambikibwa olukiiko lwa Buganda.
Asibiridde Abasika entanda, nti bwe baba baagala bannaabwe babawulire, bebalina okusooka okubawuliriza, nga baagala babawe ekitiibwa, basooke kukyewa, nga baagala babaagale, nabo basooke kubaagala. Twagala ekitiibwa kya Luswata kisigale nga kitinta.
Omutaka Muyingo, Samuel Mukasa Bulega, asabye omusika okubeera nokwagala nga kitaawe bweyali, era asabye bazzukulu be okuwagira ekika kyabwe mu mpaka z'omupiira.
Omusumba w'obusumba bwe Nkumba ku kkanisa ya Lukka omutuukirivu.
Omulabirizi asabye abantu okukuuma ettaka, n'okunyweza obumu.