Owek. Nakate ng'awa obubaka bwe eri abetabye mu lukuŋŋaana
Olukuŋŋaana lwa abatandisi b'amasomero n'abagaddukanya mu Uganda olw'omwenda luguddwawo Minisita w'Enkulakulana y'Abantu era avunanyizibwa ku woofiisi ya Maama Nnaabagereka ku Muteesa I Royal University.
Owek. Nakate akubirizza abeetabye mu lukuŋŋaana luno bulijjo okusoosiowazanga okusiga obuntubulamu mu bayizi kubanga ku masomero gye basinga okumala obudde obungi. Ono agamba nti kikulu abaana okubeewaza emize egiyinza okubaviirako obuzibu mu maaso.
Mw. Muteekanga George, kamisoona w'amasomero g'Obwananyini mu Minisitule y'Ebyenjigiriza eya Gavumenti eya wakati, nga yagaddewo olukuŋŋaana luno, yeebazizza Obwakabaka olw'okutegeka ate n'olwokuteekanga essira ku byenjigiliza bulijjo.
Olukuŋŋaana luno lwetabiddwamu abantu ab’enjawulo, omuli abatandisi b’amasomero, abaddukanya amasomero, n’abayizi
Ono asinzidde wano n'akubiriza abasomesa okunnyikiza ensomesa empya (new curriculum) gy'agambye nti yajja kuyambako okuwa abayizi obusobozi obukuguka mu bintu eby'enjawulo.