Katikkiro wa Buganda leero yeegase ku bantu abalala okuva mu nsi yonna okwetaba mu lukungaana lwa UNESCO e Saudi Arabia.
Omulamwa gwa leero gwa kutunuulira alipoota eya World Heritage Centre ku miramwa egyenjawulo n'engeri gye bagenda okussa mu nkola ebiteeso ebyakkaanyizibwako omwaka 2022-2023 okuli n'ebyo ebyakaanyizibwako mu kuzzaawo Amasiro ge Kasubi.
