Olukiiko olukulembera abaami b’amasaza mu kifaananyi ekikyawamu
Olukiiko olukulembera abaami ba Masaza, lusisinkanye okutema empenda butya bwebanaatambuza obuvunaanyizibwa obwabakwasibwa gyebuvuddeko.
Ssentebe w'akakiiko kano, Oweek. Kangaawo, Ronald Mulondo, yakubirizza olutuula luno olusookedde ddala.
Olutuula lwetabiddwamu omukwanaganya w'emirimu mu Gavumenti ez'Ebitundu, Kamisona Harris Lubega era abalambisa ku ngeri gyebalina okutambuzaamu emirimu gyabwe.
Olukiiko luno lwalondebwa mu lusirika lwa aba Masaza, abamyuka baabwe, wamu n'abateesiteesi ba Masaza olwatuula ku Pope Paul Hotel mu Ndeeba.