
Oweek. Ahmed Lwasa nga ayogerako eri abakulembeze
Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda akyadde mu Ssaza Buluuli mu kaweefube w’okwongera okunnyikiza obuweereza bw’olukiiko eri abantu ba bulijjo n’okulaga abaami ba Kabaka entambuza y’enkiiko z’obwakabaka mu ngeri entuufu.
Ono ayaniriziddwa Ow’Essaza Buluuli, Kimbugwe Robert Ssonko Kaboggoza, era asisinkanye Olukiiko lw’essaza lwonna, abakiise mu lukiiko abakiikirira Buluuli n’abaami b’e ggombolola.
Mu kwogera kwe, Oweek. Ahmed Lwasa, ng’akiikiridde Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, yategezezza ku nsonga ez’amaanyi ezisaanye okwekenneenyezebwa mu ssaza. Muno mwabaddemu entuula z’enkiiko ku mitendera egy’enjawulo, eby’enjigiriza, eby’obulamu, ettaka, embeera z’abantu n’enkulaakulana.

Abakulembeze nga mu kifananyi ekyawamu e Buluuli
Oweek. Lwasa awerekeddwako Oweek. Noah Kiyimba – Minisita wa Kabineeti n’Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Isaac Mpanga – Ssentebe w’Akakiiko k’Amateeka mu lukiiko, Oweek. Eisah Kakyama Mayanja – Omuwandiisi w’Olukiiko lwa Buganda, n’abalala.
Mu lutuula luno abakiise batuusizza okuteesa kwabwe eri Omukubiriza w’Olukiiko ku nsonga ezikwata ku bitundu byabwe.
Bano oluvannyuma balambuziddwa embuga y’essaza nga bakulembeddwamu Ow’Essaza Buluuli, Kimbugwe Robert Ssonko Kaboggoza.