
Ssenkulu wa Buganda Heritage & Tourism Board, Omuk. Najib Nsubuga, ng’ali ku Lubiri e Mmengo, ng’akutte Engule ya TripAdvisor Traveller’s Choice Awards
Engule eno eyitibwa TripAdvisor Traveller’s Choice Awards ewebwayo omukutu gwa TripAdvisor ogukola okulambika abalambuzi mu nsi yonna engeri y’okwetegekeramu olugendo lw’okulambula.
Olubiri luno luteekeddwa ku lukalala lw’ebifo 10 eby’obulambuzi mu nsi yonna ebisinze okwettanirwa mu mwaka guno 2025 ne luwebwa engule eno.
Ebifo ebyogerwako kuliko: Olubiri lw’e Mmengo, Pyramids e Egypt, Pyramids e Sudan, Eiffel Tower e France, Big Ben e London, River Nile, Olubiri lwa Lisbon e Portugal, Olubiri e Marrakesh e Morocco, n’Olubiri e Thailand.
Kristen Dalton, akulira omukutu gwa TripAdvisor, ayozaayozezza Obwakabaka bwa Buganda olw’obuwanguzi buno bw’agambye nti bwesigamye nnyo ku birowoozo by’abalambuzi olw’okubudaabudibwa obulungi nga bazze okulambula Olubiri lwa Beene e Mmengo.
Bw’abadde ayanjula Engule eno eri Obuganda, Ssenkulu wa Buganda Heritage & Tourism Board, Omuk. Najib Nsubuga, agambye nti obuwanguzi buno abutadde ku byafaayo ne bassekabaka abazze babeeramu, obumanyi n’omutindo gw’abalambuzi.
Abalambuzi abo be booleka obumanyi ku bye boogera ebikwata ku Buganda; emboozi z’obuwangwa ezinyumizibwa abalambuzi, ng’okukoma olubugo, omweso, emizannyo, n’enneeyisa y’Omuganda mu maka ge. Era n’okulaga abalambuzi ebintu ebirabwako okugeza: e motoka Rolls Royce, empuku, Twekobe, n’ebirala.
Mw. Nsubuga Najib agamba nti obuwanguzi buno butegeeza nti Obwakabaka bwongedde okubeera obwettutumu, ekibawaliriza okukola ebyo ebitwala Buganda ku ntikko nga batambulira wamu ne tekinologiya okusobola okutumbula eby’obulambuzi.