Bannankobazambogo bavumiridde ekyakoleddwa abamu ku Bataka Abakulu b’obusolya okukukuta ne basinsinkana Omukulemebeze w'Eggwanga awatali kusooka kulungamizibwa Ssaabasajja Kabaka.
Bino babyogeredde ku Ssettendekero wa Makerere, mu lukungaana lwa bannamawulire lwe batuuzizza olweggulo lwa gyo.
Babaze ekiwandiiko ekisomeddwa Ssentebe waabwe, Sseremba Hannington Kakeeto, mwebatadde ensonga zaabwe ne basaba Abataka abaakoze ekikolwa kino okwetondera Obuganda.
Basabye gavumenti okusasula ensimbi Buganda zeegibanja, yeekolere ku bizibu byayo okusinga okutemaatema mu bantu ba Kabaka.