Enteekateeka y'okwekenneenya enzirukanya y'emirimu mu Masaza yatandise, nga baasookedde Butambala, Busujju ne Ggomba.
Olukiiko lwazudde ng'omutindo gw'obuweereza gweyongedde; amakakkalabizo gateekeddwamu ebikozesebwa, so nga n'abaami bongedde okujjumbira okugabeeramu. Embuga basanze zirabirirwa bulungi, awamu n'okuzissaako ppuloojekiti ezivaamu ensimbi.
Olukiiko era lwa lambudde namasaza amalala okuli Buvuma, Mawokota ne Bugerere nga balondoola amasaza n'amagombolola.