donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okwanjula Omulabirizi omulonde owe Namirembe Rev Can Moses Bbanja eri obwakabaka

Okwanjula Omulabirizi omulonde owe Namirembe Rev Can Moses Bbanja eri obwakabaka
Image

Rev can Bbanja ne mukyawe wakati ba minisita ba kabaka Bishop Mutebi nabalala.

Omulabirizi omulonde owe Namirembe Rev Can Moses Bbanja akyaddeko embuga wakati mu kweteekerateekera okutuuzibwa ng'Omulabirizi ow'omukaaga owe Namirembe nga 10 Dec ku kanisa Lutikko ey'omutukuvu Paul e Namirembe. Rev. Can Moses Bbanja mufumbo ne Rev. Canon Prof. Olivia Nassaka Bbanja, era bafunye omukisa n’abaana basatu.

Enkyukakyuka eno eddiridde ekiseera kya Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira, eyaweereza ng’Omulabirizi ow’okutaano okumala emyaka 15 bukya atukuzibwa mu May 2009. Mu kulambula e Bulange, omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri era omuwanika w’Obwakabaka bwa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, yakkaatirizza obukulu bw’okunyweza enkolagana wakati w’Obwakabaka n’Ekkanisa okutumbula enkulaakulana mu Buganda n’ekkanisa.

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa yamwanirizza kulwa Katikkiro. Asabye omulabirizi omulonde okunyweza enkolagana ennungi eriwo wakati w'Obwakabaka n'e kkanisa mukutumbula enkulaakulana mu Buganda ne mu kkanisa.

Omulabirizi omulonde Ven. Canon Moses Banja agambye nti afunye essuubi nobuvumu okuweereza mu bulabirizi buno era ayongedde okukakasa nti lutikko ne Buganda be bamu era bajja kutambulira wamu.

Ensisinkano yetabiddwamu, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, oWeek Patrick Luwaga Mugumbule, Ssaabawolereza Oweek Christopher Bwanika, Minisita w'Abavubuka Emizannyo n'Ebitone Oweek Robert Sserwanga Saalongo, Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita w'Obuwangwa Ennono, obulambuzi n'embiri, Oweek Anthony Wamala, Minisita wa Bulungibwansi, obutondebwensi n'ekikula ky'Abantu Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita wenkulaakulana y'Abantu n'Ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek Cotilda Nakate Kikomeko, Ssenkulu wa Bicul Omuk. Roland Ssebuufu, Ssenkuku Buganda Land Board, Omuk. Simon Kabogoza.

Image

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa nga ayaniriza Omulabirizi omulonde w’obulabirizi. ly’e Namirembe Ven Can Moses Banja e Bulange Mengo.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK