Oweek Joseph Kawuki, nga yanjula lipooti
Hon. Joseph Kawuki, presenting the report.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, ya yanjudde ebivudde mu luwalo Lwaffe n'engeri amasaza, amagombola, amasomero, bannabyabufuzi, District, empya, n'ebibiina eby'enjawulo gyebikozeemu mu kuwayo oluwalo.
Olwa leero oluwalo olukomekkerezza omwaka werufundikiddwa n'amagombolola okuva e Busiro, CBS Fans Club Kyaddondo, Mutuba II Kingo, amasaza ga Kabaka mu America,
Bwabadde atikkula oluwalo olwa leero, Katikkiro alaze ensimbi eziva mu luwalo byezikola omuli, okunyweza ensawo ya Kabaka ey'ebyenjigiriza, okutumbula eby'obulamu, okutambuza emirimu gya Kabaka omuli okuyoyoota embuga zamasaza n'amagombolola, okugula empapula ezikozesebwa mu woofiisi, entambula ku ngendo ez'ebweru n'ebirala.
Yeebazizza abaami ba Kabaka abakoze ennyo okutuusa obubaka obuva embuga ku bantu yonna gyebali. Abeebazizza obutabeera ba byekwaso wabula nebatuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Asabye abaami bamagombolola bayige okukola emirimu egyenjawulo omulundi ogumu. Omuli egy'ebibiina by'obwegassi, egy'abalimi, abasuubuzi, amsomero, kibayambe okumanya emirimu egyenjawulo egyakolebwa mu mwaka.
Katikkiro alaze obwennyamivu olw'amaloboozi agatandise okuwulirwa nti Gavumenti eyagala ensimbi ezireetebwa mu luwalo zijjibweko omusolo. "Ekyo kikyamu, nga temunnatuwa Federo abantu gyebayayanira ate mwagala musolo ku nsimbi abantu ba Kabaka zebaleeta mu kwagala, mujjeewo omululu ogususse". Katikkiro bwategeezezza.
Amagombolola agakiise olwa leero, Amasaza ga America, abantu ssekinnoomu, baleese oluwalo lwa bukadde obusobye mu 108.