donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okwabya olumbe lw’eyali Omukulu w’Ekika ky’Endiga, Eng. Daniel Bbosa Kakeedo

Okwabya olumbe lw’eyali Omukulu w’Ekika ky’Endiga, Eng. Daniel Bbosa Kakeedo
Omusika ku ddyo ng’ali ne bagenyi abavudde mu Bwakabaka bwa Buganda.

Omusika ku ddyo ng’ali ne bagenyi abavudde mu Bwakabaka bwa Buganda.

Olumbe lwe yali Omukulu w'Ekika ky'Endiga eyatemulwa Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa Kakeedo lwabiziddwa mu maka ge e Kikandwa, Lungujja mu Kyaddondo. Mutabani we, Emmanuel Ssewagudde, n’atuuzibwa ng’Omusika we ow’omusaayi, ate mutabani we omukulu, Kalyesuubula Bruce Bbosa, nasikira Essiga lya Namusota, Kitaawe kye yali akulembera.

Obubaka bwa Katikkiro ku mukolo guno butuusiddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule. Mu bubaka bwe, yebazizza banatu bonna baeetabye ku mukolo guno era n’alaga okusaalirwa obutasobola okubaawo nabo, kyokka ne yebaza ab’enju olw’okutegeka olumbe lw’Omubuze.

“Okwabya Olumbe mukolo gwa buwangwa era gwa ssanyu kubanga we tulabira omusika ne era ne tukomya okukungubaga,” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro yebazizza Katonda olw’obulamu bwe yawa omubuze n’amusobozesa okukola obuvunaanyizibwa obw’enjawulo mu Kika n’okuweereza Kabaka we n’Obwakabaka okutwaliza awamu.

Kamalabyonna ayanirizza omusika era n’amukuutira okubeera omugattabantu okusobola okunyweza obumu mu booluganda baleme kwawukana. Amukuutidde okwagala Ekika kye eky’Endiga n’okwetaba mu mirimu gyakyo egy’enjawulo okwo agatteko n’okugoberera enteekateeka z’Obwakabaka n’okuzenyigiramu nga Kitaawe bweyakolanga.

Owek. Mugumbule ku lulwe, agamba nti omubuze yali mukwano gwe nnyo era baakula bonna ne bakola ebintu bingi ddala. Ono amwogeddeko ng’omuntu eyali omwetowaze ennyo era eyakola obuvunaanyizibwa bwe nga ssemaka, mu Kika ne mu mirimu gy’Obwakabaka gyonna. Akubirizza Abataka b’Ebika okuddamu okukunga abazzukulu okujjumbira enteekateeka z’Ebika byabwe.

Wakati be Basika: Omusika ow’omusaayi, Ssewagudde Emmanuel (ng’akutte effumu), ne Kalyesuubula Bruce Bbosa asikidde Essiga lya Namusota mu Kika ky’Endiga. Abali mu mbiriizi zaabwe be ba Lubuga.

Wakati be Basika: Omusika ow’omusaayi, Ssewagudde Emmanuel (ng’akutte effumu), ne Kalyesuubula Bruce Bbosa asikidde Essiga lya Namusota mu Kika ky’Endiga. Abali mu mbiriizi zaabwe be ba Lubuga.

Ku lw’Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nakigoye Nabbimba Lukabya Samson, omukulu w’Ekika ky’Ekinyomo, ayogedde ku mubuze Daniel Bbosa nga eyali omuntu omwesigwa era ne mu kiseera nga mulamu yatuulanga ku lukiiko olukulembera Abataka nga Omuwanika era n’akola bulungi obuweereza bwe.

Omutaka Nabbimba yebazizza ab’enju olw’okukkiriza nti obuwangwa n’eddiini bisobola okuyimirirawo byonna awamu. Abasiimye olw’okutegeka olumbe newankubadde omugenzi yaleka enju nga bonna balokole. Yebazizza n’omusumba abaddewo okusabira omusika n’avumirira abo abeerimbika mu ddiini okuvvoola obuwangwa.

Omutaka Nabbimba akubirizza abantu ba Buganda okuwagira enteekateeka y’okwabya olumbe n’okuwagira Abasika okutuukiriza obuvunanyizibwa bwe. Ono agamba kikulu nnyo okugoberera obuwangwa n’ennono zonna eza Buganda ng’akiggumiza nti nnyini kiggwa ya kityoboola, asabye Obuganda bwonna okunyweza obuwangwa n’ennono.

Omutaka Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi, Omukulu w’Ekika ky’Endiga kati, agamba nti kikulu okuba nti omukolo ogukomekkereza okukungubaga gukoleddwa ate mu mbeera entuufu. Ono agamba nti kizibu okwerabira omugenzi kyokka kikulu nnyo okunaazaawo ennaku. Akubirizza Omusika ne Lubuga okutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweereddwa naddala nga bakola okusalawo mu mbeera ez’enjawulo.

“Topapa kusalawo mu mbeera yonna, fuba okulaba nti webuuza, obuyinza bw’ofunye bukwate bulungi nga tewerabidde kukuuma mukululo gwa mukadde wo,” Lwomwa Buzaabo asibiridde omusika entanda.

Lwomwa era asabye omusika okwetaba mu nteekateeka z’Ekika nga Kitaawe bweyakolanga, era asuubizza nti ye wakwongera okutwala mu maaso ebyo Lwomwa omubuze bye yaleka atandiseeko, Ekika kyongere okubeera ku ntikko.

Katikkiro w’Ekika ky’Endiga era avunanyizibwa ku nsonga z’Obuwangwa MI Kika, Omutaka Kiyingi Paul, ategeezeza nti enjogera egamba nti kyosiga ky’okungula etuukira butereevu ku mugenzi Bbosa kubanga abantu be yabeera nabo n’ababaddewo mu biseera eby’enjawulo ng’avudde mu bulamu bw’Ensi bikakasa nti ono yali muntu w’abantu era asabye buli muntu okweyisa bulungi eri omulala.

Omutaka w’Essiga lya Namusota atuuziddwa era mutabani w’Omubuze, Omutaka Kalyesuubula Bruce Bbosa, yebazizza Abataka n’abantu bonna ababayambyeko okulaba nti enteekateeka z’olumbe zonna zitambuzibwa mu mitendera emituufu. Agamba nti bingi bye bayize ng’abaana era asuubiza nti baakwongera okuyiga okusobola okutuukiriza obuvunanyizibwa obubaweereddwa.

Nnamwandu w’omugenzi, Gladys Bbosa, yebazizza Katonda olw’obulamu era amukuumye n’okumugya okuva bba lwe yafa, era amusabye ayongere okumugumya naddala okumwerabiza byonna ebyaliwo. Kinajjukirwa nti ono yali mu mmotoka bba mwe yakubirwa amasasi era yawonera watono naye okutwalirwa mu mbeera eno. Ono asabye abantu bongere okubabeererawo ebbanga lyonna nga ne Katonda bw’ababeera mu mbeera gy’agambye nti teyinza kwerabirwa.

Abaana b’Omugenzi beebazizza Katonda abatuusizza ku lunaku luno ne beebaza n’abantu bonna abeetabye ku mukolo guno, ate era abababeereddewo okuva Kitaabwe le yabava ku maaso. Bano era beebazizza Mukama abakuumye nga bali bumu awatali bumulumulu bwonna.

Lwomwa Omubuze Daniel Kakeedo Bbosa yazaalibwa nga 23/03/1995, yali mukulu wa ssiga lya Namusota era n’akulemberako Ekika ky’Endiga nga Lwomwa okumala emyaka nga 17 okutuusa lwe yatibwa amasasi mu ngeri ey’entiisa nga 25/02/2024. Ono yasikizibwa Lwomwa Eria Buzaabo Lwasi nga Lwomwa Omubbulukuse era aliko kati.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK