Okuva kudyo Owek. Katikkiro, Owek Kawuki ne owek. Kiyemba nga baganzika ekimuli.
Obwakabaka bwegasse ku ekeleziya katulika okuwerekera omugenzi Rev. Fr. Lawrence Yawe Mudduse.
Omugenzi aziikiddwa ku lutikko e Kiyinda Mityana.
Katikkiro asinzidde mu kuziika kuno naasaba bannayuganda okugoberera amateeka agafuga ebidduka by'okunguudo kigendeeze ku bubenje obumazeewo obulamu bw'abantu. Akubirizza abantu obutavuga ndiima, okugoberera obubonero ku makubo, abavuzi be bidduka bafune license ezibakkiriza okuvuga, tebanywa mwenge ne bavuga.
Obubaka bw'omutaka Kayiira Gajuule busomeddwa Oweek Joseph Kawuki, alaze okunyolwa olw'okuviibwako muzzukulu we abadde woomugaso mu Kika ky'e Mbogo.
Ekitambiro ky'emmisa kikulembeddwamu Omusumba we Ssaza lya Mityana, Bishop Dr. Anthony Zziwa, yebazizza nnyo abantu abadduukiridde omugenzi nga agudde ku kabenje, abasawo, abebyokwerinda ne bannaddiini abababeereddewo mu kiseera kino eky'okunyolwa.
Rev. Fr. Lawrence Yawe Mudduse yazaalibwa nga 4 February 1971 e Minana kisuule mu District ye Mityana.
Wafiiridde nga alina ekitabo kyawandiika ekikwata ku buwangwa, embeera z'abantu, ennimi n'ebyenkulaakulana, era Katikkiro yeyawandiika obubaka obw'enjawulo mu kitabo kino.