Muky. Teddy Nabakooza Galiwango, eyakikiridde Buganda mu lukungaana lw’Obutonde bw’ensi
Obwakabaka bwa Buganda buwaddeyo endowooza yabwo ku nkungaanya y’ensimbi ez’okudduukirira eby’obutonde bw’ensi, eziwebwayo amawanga ga naggwadda eri Ensi ezikyakula.
Ebirowoozo by'Obwakabaka biweereddwayo omukwanaganya w'Obutonde bw'Ensi mu Bwakabaka, Muky. Teddy Nabakooza Galiwango, mu lukungaana lw'ensi yonna ku butonde bw'ensi olwa 16th Conference of the Parties (COP16), olugenda mu maaso mu kibuga Cali, ekya Colombia.
Gyebuvuddeko, olutuula olw'abantu bonna mu COP16 lwasalawo okutandikawo ensawo ey'okuterekamu ensimbi ezirondoolwa ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi, nga balaba nti kigwanidde wabeerewo okutereka ensimbi.
Era, Ensi ezinaaba zizetaaze zisobolenga okufuna obuyambi buno, buziyambeko okussa mu nkola enteekateeka zaabwe okutaasa obutonde bw’ensi.
Olukungaana nga lungenda mumaaso
Leero bateesezza ku ntereka y’ensimbi, era ne baani abagwanidde okuzifuna, ssaako okwekenneenya n’okunyweza enkola y’okusasaanyamu ensimbi zino.