Oweek Nansamba Mariam nga akuba ebirayiro
Omwami wa Kabaka omuggya, atwala omuluka gwa Mmengo, Nansamba Mariam, atuuziddwa mu butongole.
Omumyuka owookubiri ow'omwami w'essaza Kyaddondo, Dr. Fiona Nakalinda Kalinda yamutuuzizza wamu n'omumyuka we George William Makanga, n'amusaba okujjayo ekitiibwa kya Buganda mu bikolwa ne mu njogera, era yeesigamye obuweerezaabwe ku nsonga ssemasonga ettaano.
Oweek Israel Kazibwe Kitooke ku mukolo gwokutuuza omwami wa Kabaka
Obwakabaka bulabudde ababuvvoola n'okuyisa mu Namulondo olugaayu.
Okulabula kuno kukoleddwa Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke ku mukolo gwokutuuza omwami wa Kabaka owoomuluka gwa Mmengo, Nansamba Mariam.
Minisita Kazibwe okwogera bino asinzidde ku nkozesa embi ey'emitimbagano abantu kwebasinziira neboogera ebitasaanye nebeefuula nti ba kitalo nnyo, ye kyagambye nti kino kituuse okukoma kubanga obwakabaka bwasazeewo nti kati buli muntu yenna avaayo neyeerijja ku Namulondo naddala abo abatwala Kabaka mu mbuga z'amateeka nga tebalina bukakafu, kajja ku bajjuntuka kubanga Kabaka siwakuzannyirako.
Asabye abantu ba Kabaka okwewala wamu n'obutawa mukisa abantu abakozesa obubi omutimbagano nga bavvoola obuganda bwatyo n'abasaba balinde nga amawulire amatongole okuva e Mmengo naddala ku nsonga ezikwata ku bwakabaka.