donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okutuuza omubaka wa Kabaka Ow'essaza ly'eBusoga

Okutuuza omubaka wa Kabaka Ow'essaza ly'eBusoga
Image

Omubaka wa Kabaka n'omumyukawe emabega ye Oweek Joseph kawuki

Omubaka wa Kabaka Ow'essaza Busoga Oweek. Nakiyingi Jane Bakalikwira atuuziddwa awamu n'omumyukawe mw. Moses Ssennyonjo. Omukolo gukoleddwa Minisita w'ensonga za Buganda Ebweru Oweek. Joseph Kawuki era gubadde ku somero lya Trinity junior School e Kamuli.

Minisita akkaatirizza nti ekitiibwa ekitambulira ku bifo kiva ku buweereza bwababirimu. Akuutidde Abaganda abali ebweru wa Buganda okulafuubana okumanya engeri Buganda gyetambuzibwamu ng'amakanda gali ku nsonga Ssemasonga ettaano kibataase abayinza okubabuzaabuza okubalowoozesa nti Buganda ebuukira buli ekigwawo. Abasabye okukolerera okutumbuka yonna gyebali ate n'okubaako kyebakolera ensi yaabwe.

Oweek. Nakiyingi Jane Bakalikwira atuuziddwa nabakiise kulukiiko lwe mu kifananyi eky'awamu n'oweek Joseph Kawukiki

Oweek. Nakiyingi Jane Bakalikwira atuuziddwa nabakiise kulukiiko lwe mu kifananyi eky'awamu n'oweek Joseph Kawukiki

Oweek. Bakalikwira ategeezezza Minisita nti e Ssaza lijja kwanjula enteekateeka kwerinaatambulizibwa nga 28/01/2024 era naasaba abakulira ebitongole abalayidde obutabongoota.

Omukolo gwetabiddwako Kaggo Oweek. Hajji Ahmed Magandaazi , Katambala Hajji Sulaiman Magala, Ssaabalangira wa Bugabula Woira Henry, Omw. Laston Ssempala Omukiise mu lukiiko lwa Kyabazinga ssaako Abasista okuva ku kigo Kya St. Joseph Lubaga e Kamuli.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK