Katikkiro nga yogerako eri abakulira coffee devlopment authority
Obwakabaka busabye Gavumenti ereme kujjawo kitongole kya Uganda Coffee Development Authority kulw'enkulaakukana y'eggwanga
Bino bituukiddwako mu nsisinkano ebaddewo wakati w'abakulira ekitongole kya UCDA nga bakulembeddwamu Ssentebe wa Bboodi Dr. Ben Mugoya, ssenkulu Dr. Emmanuel Lyamulemye n'abalala wamu n'Obwakabaka nga bakulembeddwamu Katikkiro Charles Peter Mayiga e Bulange Mengo.
Katikkiro agamba nti ekitongole kino kye kikiikirira eggwanga mu kulinoonyeza akatale k'e mmwanyi mu mawanga g'ebweru, okufunira abalimi emmwanyi eziri ku mutindo, okulambika abalimi ku nnima y'emmwanyi ey'omulembe, ate n'abalimi bafunyemu ensimbi, noolwekyo eky'okukijjawo kijja kuzza emabega eggwanga mu byenfuna ate n'abantu bajja kwavuwala.
Obwakabaka era bwagala abavubuka basoososwazibwe baleme kwemalira mu kuvuga boda boda zokka.
Era Katikkiro ayagala abakyala beenyigire mu kulima emmwanyi kubanga bbo bassaayo nnyo omwoyo ku mulimu ogubaweereddwa era nebagunyiikirira.
Ssentebe wa Bboodi ya UCDA asabye Kamalabyonna akulemberemu kaweefube wokulaba nga emmwanyi ya Uganda etuuka ku katale k'amawanga ga Bulaaya (European Union).
Katikkiro nga tongoza ekyuuma ekikola kaawa
Minisita w'Obulimi, obutale n'obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo, ategeezezza nga omukago gwebatta ne UCDA bweguyambye okukyuusa embeera z'abantu era kaweefube ono abunye amasaza ga Buganda era wakwongera okubunyisibwa.
Dr. Ben Ssekamatte, Ssentebe wa Bboodi ya BUCADEF agambye nti omukago guyambye okugoba obwavu era abantu bettanidde nnyo okulima emmwanyi era mu bitundu gyebatalaaze banyiikiridde nnyo kaweefube ono era obwetaavu bwendokwa nemeserezo bweyongedde.
Agamba nti newankubadde waliwo ebirungi ebituukiddwako, wakyaliwo obwetaavu bwokubangula abalimisa ku nkuuma yettaka, ennima entuufu ey'emmwanyi basobole okuggyayo ebyo ebyetaagisa mu kwongera omutindo ku mmwanyi babibunyise mu balimi mu Masaza.
Ensisinkano eno egendereddwamu okwekenneenya ebyo ebituukiddwako n'ebibasomooza bukya omukago gugunjibwawo.
Uganda Coffe Development Authority ewadde obwakabaka ekyuuma ekikuba kaawa owokunywa ng'ekirabo kyokwebaza olw'ebirungi ebituukiddwako mu mukago gwebatta.