Minisita w'Obulimi, Obwegassi, Obutale, n'Obuvubi, Oweek Hajji Amisi Kakomo, akwasizza ab'e Gombolola ya Ssaabawaali Kasanje, endokwa z'emmwanyi 1000 ezaabaweereddwa Obwakabaka, bazisimbe zibayambe okugoba obwavu mu kitundu kyabwe.
Akubiriza abaami ba Kabaka okulabirira emmwanyi obulungi babeere eky'okulabirako eri abalala.
Era abakubirizza obutatundira Mmwanyi ku misiri okwewala okufirizibwa, era abawadde amagezi okwettanira obwegassi. Abakubirizza okunywa kaawa, olw'emiganyulo egirimu ate n'okwongera ku katale.