Edwaliro erizimbibwa e Ssingo Mityana
Obwakabaka nga buyita mu Buganda Kingdom Medical bureau bufubye okuzimba amalwaliro okusobola okukyusa kumbeera y’ebyobulamu mu Buganda.
Akakiiko akavunaanyizibwa ku mpeereza y'ebyobulamu mu Bwakabaka, aka Buganda Kingdom Medical bureau (BKMB), balambudde e ddwaliro ly'Obwakabaka erizimbibwa e Ssingo Mityana, okulaba engeri gyebayinza okuwa amagezi eri abazimbi ku ngeri ebisenge ebyakazimbibwa gyebiba bigabanyizibwamu okusobola okutuusa obuweereza obwa buli ngeri mu kifo ekyo nga bwebalinda ebizimbe ebirala ebisuubirwa okuzimbibwa okusobola okugaziya ku buweereza.
Akakiiko kakulembeddwamu Ssentebe waako, Dr. Jane Ruth Nassanga.