Oweek. Robert Sserwanga akyaziza aba 'Young Farmers Federation of Uganda' ekikulirwa Omulangira Kabiito Dennis.
Bano balina ekiruubiribirwa eky'okutta omukago n'Obwakabaka nga bayita mu kitongole kya BICUL ne Minisitule y'Abavubuka
Omukago guno gutunuulirwa okusitula Obulimi n'obulunzi mu bavubuka abawangaalira mu Masaza ag'enjawulo, abali mu Masomero wamu n'okuyita mu bibiina byaabwe eby'enjawulo mwe beegattira.