Empaka z’obwa Nnalulungi w'Ebyobulambuzi mu Buganda 2024 ziri mu ggiya.
Amasaza okuli Kabula, Ssese ne Kkooki gamaze okulonda abanaagakiikira mu mpaka ez'akamalirizo.
Empaka z'omwaka zitambulira ku mulamwa: Ebyobulambuzi n'Emirembe.
Era nga ebitongole ebye njawulo bivudeyo okuziwagira.