Minisita w’Obulimi, Obwegassi, Obusuubuzi n’Obutale, Oweek. Haji Amis Kakomo, yalambudde ekkakkalabizo lya BULADDE Financial Services, erisangibwa ku kizimbe Masengere e Mengo, okulaba engeri gye batambuzaamu emirimu.
BULADDE kibiina kya bwegassi ekitereka n’okuwola ensimbi, nga kiddukanyizibwa Buganda Land Board, ku lw’Obwakabaka, ekisangibwa ku Masengere, e Mengo, ng’okufuuka mmemba, omuntu agula emigabo, oba yewandiisa n’atandika okutereka nabo ensimbi.
Haji Kakomo, yasiimye omulimu gwe yalabye, n’abakuutira okusoosoowaza obwerufu, n’okukola ennyo nga bagoberera amateeka, okunyweza enkolagana ne ministule ebatwala, awamu n’okweyunira enteekateeka zaayo ezikulaakulanya abantu.