Minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu, Okulambula kwa Ssaabasajja Kabaka n'Ensonga z'Abantu b’Ebweru Oweek. Joseph Kawuki, yasisinkanye olukiiko olusazi lw’empaka z'enzirukanya y'emirimu mu masaza awamu ne mu maggombolola, n’abasaba okukola omulimu mu bwesimbu nga beekenneenya ensonga zonna okusinziira ku lupimo olunaakozesebwa.