Katikkiro ng’atongoza BUCADEF mu kyadondo
Katikkiro atongozza okunywa kaawa mu Kyaddondo, enkola eno agitongolezza ku ssomero lye Lwadda Primary school.
Asinzidde wano n'akubiriza abantu banywe Kaawa kubanga, ayamba obwongo, akendeeza omugejjo, ayamba mu kukola dduyiro, akendeeza ebizibu bye kibumba, ayamba omutima okuba omulamu, ayongeza ku buwangaazi, ayongera amaanyi mu bazannyi b'emizannyo, akwongera okuba omusanyufu.
Agamba nti abantu basaana bakimanye nti bwetunywa kaawa omulimi ayongera okufuna ssente.
Okwogera bino, Katikkiro abadde alambula abalimi b'Emmwanyi mu Gombolola ya Ssaabwaali Gombe mu Ssaza Kyaddondo.
Alambudee abalimi okuli, Charles Ddungu, Charles Kazibwe, era atongozza Wadena Sacco e Buwambo.