Kabaka bweyali agulawo emipiira gy'ebika mu myaka egyayita
Empaka z'Omupiira gw'Ebika 2024 zitandika ku Lwamukaaga luno.
Mmamba eya Gabunga baggulawo n'Obutiko mu mupiira ogw'okubaka nga 20/04/24 ku Kisaawe kya St. Lawrence University.
Okutunka mu kubaka kwa kumala ennaku 7 olwo omupiira ogw'ebigere gutandike nga 27/04/24
Abaganda bona bakubirizidwa okuwagira ebika byabwe bisobole okwetaba obulungi mu mpakka zino.