Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule ng’atongoza ekitabo “Buganda Ensi Mirembe”
Mu kutongoza ekitabo ky’ebyafaayo Buganda Ensi Mirembe, Sipiika Mugumbule atendereza obukugu bw’abawandiisi mu kunoonyereza eby’okuwandiikako.
Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule, obubaka buno abuweeredde ku mukolo gw’okutongoza ekitabo "Buganda Ensi Mirembe" ku Tal Cottages e Lubaga. Wano yategeerezza nti okuwandiika ekitabo kitwala ebiseera bingi, kyetaaga okunoonyereza, okwebuuza ate n’okusoma mu bitabo by’abalala okusobola okufuna ebyafaayo by’ekyo kyawandiikako.
Wano wasinzidde n’eyeebaza omuwandiisi w’ekitabo kino, Omutaka Walusimbi Kasolo Ben, olw’okuzibula abantu amaaso nga abawandiikira ebyafaayo, ate n’abantu ne babisoma okwongera okwojiwala. Sipiika era anoonyezza nti abantu bangi basoma ebitabo, naye bettanira nnyo ebyo ebijjira ku mbeera z'obulamu bwabwe.
Omuwandiisi w’ekitabo kino "Buganda Ensi Mirembe", Omutaka Walusimbi Kasolo Ben, mu kuwanuuza ku bimu bye yawandiiseeko mu kitabo, alaze nga Buganda bw'esasaanidde olukalu lwa Africa. Yategeezza nti mu mawanga mangi waliyo ebifo ebituumiddwa amannya g'Abaganda. Okugeza e Malawi, waliyo ekitundu ekiyitibwa Kisitu ne Muwanga, amannya agasibukira ddala mu Bika by’Abaganda. Ebirowoozo ebyo byeyongera mu mawanga okuli Namibia, South Africa, ne Zambia, awali ebigambo n’ennono z’Abaganda. Era n’anoonyezza nti wano mu Uganda, mu buli kitundu ekisinga kuliko akakwate ka Buganda.
Omutaka Namwama, Augustine Kizito Mutumba, yakuutidde Abaganda okweyagalira mu kyebali nga basoosowaza Olulimi, Ebika, n’Obuwangwa bwabwe.
Abogezi abalala ababaddewo okuli: Katikkiro omuwummuze Oweek. Dan Muliika, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Oweek. Israel Mayengo, ne Alex Mukulu, basomesezza ku mulamwa “Okumerusa Ebyafaayo.”
Ekitabo kino "Buganda Ensi Mirembe" kirombojja ebyafaayo bya Ensi Buganda n'akakwate kaayo ku buwangwa obulala.