Oweek Twaha Kaawaase Kigongo wakati nga atongoza enkola eno.
Enkola ya Munno mu Kabi eya Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd ne Liberty of Life, etongozeddwa
Omumyuka wa Katikkiro Asooka era Minisita w'obuyiiya n'enzirukanya y'emirimu, Oweek Twaha Kaawaase Kigongo, yeebaziza Ssaabasajja Kabaka bulijjo okubawanga emiramwa egiyamba abantube. Okwogera bino abadde atongoza enkola ya Munno mukabi ku Muganzirwazza, ereeteddwa okuyamba ababtu naddala mu bizibu by'obulamu eby'enjawulo.
Asinzidde wano n'akubiriza abantu okweyuna enkola ya Munno mu Kabi bataasibwe ku bizibu ebiva ku nsonga z'ebyobulamu.
Enkola eno erimu emitendera ebiri okuli okusasula emitwalo 36,000 oba 60,000 buli mwaka, nga kuno kujjirako emiganyulo omuli okuyambako abafunye obubenje, abalwadde, ab'enganda ababa bafiiriddwa mmemba wa yinsuwa n'emirala.
Omukolo guno gwetabiddwako Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Omuk. Jennifer Ssensuwa Mirembe Ssenkulu wa Weerinde Insurance, abakungu okuva mu Insurance Regulatory Authority, Liberty of Life n'abantu ba Kabaka abalala.