donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okuteekateeka okw'amatikkira ga Kabaka Mutebi II ag'omulundi ogwa 31

Okuteekateeka okw'amatikkira ga Kabaka Mutebi II ag'omulundi ogwa 31
Image

Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ng'ayanjula olukiiko

Enteekateeka z’okujaguza amatikkira ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ag’omulundi ogwa 31 zigenda mu maaso.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ayanjudde olukiiko olugenda okuteekateeka okujjukira Amatikkira ga Kabaka ag'omwaka guno nga 31/07/2024.

Ategeezezza nti omulundi guno okujjukira Amatikkira wekutuukidde nga waliwo okusoomozebwa olw'obukosefu bwa Kabaka wabula waliwo bingi ebituukiddwako mu Buganda olw'okulembeze bwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okuva lwe yazza eŋŋoma nga 31/07/1993.

Bwatyo ayanjudde omulamwa Amatikkira kwe gagenda kutambulizibwa oguli nti "Obumu bwaffe, ge maanyi ga Nnamulondo."

Olukiiko olugenda okuteekateeka nga lukulemberwa Oweek. Anthony Wamala Minisita w'Obuwangwa Embiri Amasiro Obulambuzi n'Ebyokwerinda n'amyukibwa Oweek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w'Amawulire n'Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka.

Olukiiko olugenda okuteekateeka okujjukira Amatikkira

Olukiiko olugenda okuteekateeka okujjukira Amatikkira

Alambuludde nti amatikkira ag'omulundi guno gajja kubeeramu okusabira Ssaabasajja Kabaka mu masinzizo ag'enjawulo era ng'okusaba okw'okuntikko kujja kubeerawo nga 31/07/2024 mu Lutikko e Namirembe.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK