Oweek Robert Waggwa Nsibirwa nga ayogera kuntekateeka y'okutaasa obutonde mu bwakabaka bwa buganda
Mu kukuza ssabbiiti ya Butondebwensi mu Buganda omwaka guno essira liteereddwa ku baana bato okulaba nga bamanyisibwa obukulu obuli mu kukuuma obutonde.
Oweek. Nsibirwa yeebaziza nnyo amasomero ag'enjawulo olw'okuyigiriza abaana engeri y'okukuumamu obutondebwensi nga bayita mu bitontome, ennyimba n'ebiyiiye eby'enjawulo.
Asabye abaana okutandikira mu maka gaabwe ne mu bifo gye bawangaalira okukuuma obutonde nga babuulira bazadde baabwe obukulu bwa kino, okuyonja yonna gye babeera n'okusimba emiti.
Oweek Robert Waggwa Nsibirwa nga alambula abayizi bwebade nga bolesa engeri y’okutasaamu obutonde
Abaana okuva mu masomero ag’enjawulo baayolesezza ebintu eby'enjawulo bye bakola n’ekigendererwa eky’okutaasa obutonde bw’ensi.
Oweek. Waggwa yaalambudde emiddaala okubadde ebyoleseddwa, yeebazizza abayizi olw'obuyiiya era nabasaba okufaayo okukuuma n'okutaasa obutondebwensi era bamanyise ne bazadde baabwe obukulu bwa kino.