
Owek. Nakate Kikomeko ne Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kagwa Ndagala
Mu kaweefube w'okuyitimusa eby'obulamu mu Bwakabaka, Minisita w'Enkulaakulana y'Abantu era avunaanyizibwa ku by'obulamu mu Bwakabaka, Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, wamu n’abaweereza mu kitongole ekyo, batudde okutema empenda ku butya bwebayinza okukwatira awamu okusitula omutindo gw’empeereza y’ebyobulamu mu Bantu ba Kabaka.
Mu bikkaanyiziddwako kuliko okunyweza enkolagana ne bannamikago, wamu n’okunoonya abalala okusobola okufuna obuvujjirizi eri enteekateeka z'okutumbula eby'obulamu mu Bantu ba Beene olw'obugazi bw'obuweereza bweby'obulamu mu Bwakabaka.
Minisita Choltilda Nakate Kikomeko akkaatirizza nti eby’obulamu bisaana biteekebwe ku mwanjo mu buli nteekateeka kubanga omuntu omulamu y'asobola okukola n’okukulaakulanya eggwanga.
Omukungu Kaggwa Ndagala mu lutuula luno akubirizza abaweereza bulijjo okwewayo nga baweereza okusobola okukuuma ekitiibwa kya Namulondo. Mu kkowe lino atadde essira ku kukolera awamu mu kutumbula eby’obulamu mu Bwakabaka bwa Buganda kubanga abantu bangi beetaaga okukwatibwako olw’obutaba na busobozi bw'etuusako bujjanjabi.