Minisita w'Amawulire, Omwogezi w’Obwakabaka, n'okukunga abantu, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, asisinkanye abaweereza okuva mu kitongole ky'amawulire ekya Buganda Land Board, ne bamwanjulira engeri gyebatambuzaamu emirimu gy'amawulire mu kitongole kyabwe.
Minisita abalambise kwebyo Minisitule gyakulembera byetegese okukola okwongera okutumbula omutindo gw'eby'amawulire mu Bwakabaka naddala nga beeyambisa tekinologiya.