Nabagereka n'omumbeja Sangalyambogo mu lutikko e Namirembe.
Nnaabagereka asabidde ku St. Paul's Cathedral e Namirembe, Omulangira David Kintu Wasajja asabidde Lubaga era asomye obubaka bwa Kabaka obwa Ssekukkulu n'omwaka omuggya.
Amazalibwa ga Mukama Waffe Yesu Kristu galeese esanyu n’obumu mu bantu ba Ssabasajja Kabaka.
Tubakulisa mwena okutuuka ku mazalibwa ag’omwakaguno.