Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka, Oweek. Robert Waggwa
Enkola y'okusiga ensimbi nga beeyambisa tekinologiya mu Kyaddondo cbs Pewosa Sacco, etongozeddwa.
Abantu ba Ssaabasajja kati basobola okunyiga *284*44# ku siimu zabwe okufuka ba memba, okuteereka, okwewola n'okusiga ensimbi buli lunaku nebafuna amagoba agali wakati wa 12% ne 18%.
Bwabadde atongoza enkola eno, Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa akubirizza abantu akukyusa endaba y'ebintu okubeerako obuweereza bwe bakola ne kyebatunda mu katale ka Uganda n'okweyunira enkola ya tekinologiya kubanga ya bwerufu n'okwanguya emirimu.