Ab'ebitiibwa nga bakulembeddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Baminisita ba Kabaka, ba Nnaalinnya, Olulyo Olulangira, bannabyabufuzi, abaami ba Kabaka ku mitendera egyenjawulo, beetabye mu kusabira omugenzi Oweek Joyce Mpanga ku kanisa ya St. Stephen's e Lungujja.
Obwakabaka bukulembeddwamu Oweek Patrick Luwaga Mugumbule era yatuusizza obubaka kulw'Obwakabaka, obulaze okunyolwa olw'okuviibwako omuntu owettendo, omujjumbize mu ntuula z'olukiiko lwa Buganda, era omuteesa omulungi.