donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Okusabira Obuganda e Namungoona ku lutiko

Okusabira Obuganda e Namungoona ku lutiko
Image

Minisita w'Obuwangwa, Ennono n'Obulambuzi, Oweek Dr. Anthony Wamala, yakiikiridde Obwakabaka mu kusabira obuganda mu nzikiriza y'Abasodokisi e Namungoona ku Lutikko y'Omutukuvu Nicholas.

Okusaba kukulembeddwamu Fr. Emmanuel Kiwanuka.  Akuuma ekifo Kya Diini wa Lutikko eno nga ye Fr. Dr. Nicholas Bayego atali mu ggwanga.

Ayambiddwako Fr. Stellios Kasule ng'ono yakoze okubuulira mu mmisa eyimbiddwa ku lw'olunaku lwa Bulungibwansi mu Buganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK