Abamu ku bantu abasobodde okwe taba mu kusaba kuno
EBYO bye bimu ku bigambo ebyayogeddwa Abaganda, mikwano gya Buganda, n’abo abalafuubana okunnyikkiza, okwagazisa n’okutumbula olulimi Oluganda -naddala mu bantu abawangalira ewala ne Buganda.
Bino byabaddewo ku Sunday nga 2 Ssebaaseka 2024, mu Kkanisa y’Omutukuvu Pawulo e London (St. Paul’s Cathedral, London), olulimi Oluganda bwe lwakozeseddwa mu kusiinza omulundi ogwasokedde ddala mu myaka 1400 ekkanisa eno gyebadewo.
Olulimi Oluganda okulya empanga mu nnimi za Ssemazinga wa Africa, kyatukiddwako ng’akabonero ak’okusiima omukyala Jennifer Muwonge, awereezza mu Kkanisa ya St. Paul’s Cathedral okumala ebbanga eddene – naalaga okukkiriza okw’ebikolwa.
Abamu ku batesitesi
Mu kusiinza okwa Eucharist service, omubuulizi yalambise obulungi bw’eKkanisa ebuna wonna, era ey’abantu bonna; ab’enjawulo mu nsusu, ennimi, n’obuwangwa.
Mu ngeri yeemu, omusumba yakkatirizza ng’olulimi Oluganda bwe lwogerwa n’okutegerwa abantu abangi e Uganda n’ebweru waayo.
Okusaba kwetabiddamu Omubaka wa Ssaabasajja mu UK ne Ireland Oweek. Ssaalongo Geoffrey Kibuuka, n’abantu ba Buganda abaasobye mu kikumi mu asatu (130). Mu kutwalira awamu, kyategerekese nti bwe kataligirya… okusiinza mu lulimi Oluganda, mu Kkanisa y’Omutukuvu Pawulo ku liddamu mu nteekateeka ey’olubeerera.
Olunaku lwakomekkerezeddwa n’ebinyogoga mu Leonard Royal St. Paul’s ku Godliman Street.