
Owek. Mariam Mayanja Nkalubo wakati ngaalinabakulembeze bekanisa mukusabira Ssabasajja
Mu kkanisa y’Abadiventi e Kireka leero, Obwakabaka butenderezza Katonda olw’okusobozesa Ssaabasajja Kabaka okutuuka ku myaka 32 nga atudde ku Nnamulondo.
Mu bubaka bw'Obwakabaka obusomeddwa Minisita Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo, Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebaziza nnyo Omutonzi olw’obulamu bw'awadde Ssaabasajja Kabaka okutuuka ku kujjukira n’okujjaguza amatikkira omulundi ogwa 32.
Katikkiro yeebazizza abakulembeze b’enzikiriza abasabidde ennyo Ssaabasajja Kabaka n’okukumaakuma abantu be mu biseera byonna ebibaddemu okusomoozebwa nga Buganda n’abasaba obutakoowa kumusabira buli lukya.
Omusumba w’Ekkanisa eno Daniel Ssenuuni, asanyukiddeko nnyo Ssaabasajja Kabaka okuweza emyaka 32 ng'atudde ku Nnamulondo era ne yebaza Katonda olw’Obwakabaka obuyambye ennyo abantu mu nkulakulaana mu byobulamu, ebyenjigiriza n’ebintu ebirala.
Yeebaziza nnyo Obwakabaka olw’ekisa okuwaayo ettaka okuli amasinzizo ag’enjawulo kyayise ekikolwa ekissaamu Katonda ekitiibwa nga tekisangikasangika mu mawanga malala.
Okusaba kuno kukulembeddwamu abaana abato wansi w’omulamwa “Ndi muto naye nsobola, mpa omukisa” nga mwana muwala Jemimah Mugole asabye abazadde obutabalekerera nga abaana babawe omukisa nabo okwetaba mu kuwereza Katonda kubanga kibakwatako.