
📸Ekifananyi ky’Omutukuvu Pop Francis mu Lutikko e Lubaga
Abakristaayo, nga bakulembeddwamu Omubaka wa Paapa mu Uganda, The Most Rev. Archbishop Luigi Bianco, n’abantu ba Katonda abalala, bakuŋŋaana ku Lutikko e Lubaga okuyimba mmisa ey’oku jjukira Omutukuvu Paapa Francis.
Omubaka Bianco yakulembedde ekitambiro kya mmisa, n’atendereza Katonda olw’obulamu bw’awadde Paapa Francis, n’agamba nti bubaddemu ebirungi bingi eri Abakristaayo n’abantu ab’enkola z’enzikiriza endala.
Yasabye abantu okuyigira ku by'akoze, naddala ku kwagalana n’okunyweza obumu.
Yagasseeko nti Paapa Francis wakujjukirwa ebbanga lyonna olw'omukululo gw’alese mu bukulembeze bwa Ekelezia.
Obwakabaka bwa Buganda nabwo bwatenderezza nnyo emirimu gya Paapa.
Ssaabasajja Kabaka mu bubaka bwe eri Abakristaayo, yatendereza ekifaananyi Paapa ky’alese — eky’okuyimirira ku lw’empisa ennungi, obuntubulamu, okugatta abantu, okwagalana, n’okusasira Ekelezia olw’okuviibwako omuntu ow’ekitiibwa kino.
Ku lwa Gavumenti ya Kabaka, Katikkiro Charles Peter Mayiga yatikkula obubaka obusomeddwa Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, era n’atendereza engeri Paapa gy’abadde ayagala abantu awatali kusosola.
Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, yayogera ku bumu Paapa bw'abadde asomesa ate n'abuteeka mu bikolwa — ng’alambula ababundabunda, abali mu makomera, n’abantu ba buli langi, nga n’ateeka wansi ekitiibwa kye okusinga n’okutabagana kw’abantu bonna.

📸Owek. Patrick Luwaga Mugumbule nga asoma obubaka okuva mu gavumenti ya Kabaka
Bp. Anthony Zziwa mu bubaka bwa Ekelezia ya Uganda, yasiimye engeri gye baawulidde ennaku oluvannyuma lw’amawulire g’okufa kwa Paapa, naddala olw’obuweereza bw’abadde aweereza Ekelezia n’obukulembeze obulungi.
Yagambye nti Paapa abadde akubiriza abakulembeze b’Ekelezia okulaga omukwano eri abo be bakulembera era bafube okunyweza obumu mu Kkanisa ya Katonda.
“Paapa Francis alambudde ensi ez’enjawulo ng’abaunyisa enjiri ey’okwagalana, okutabagana n’okumanya Katonda. Ne mu kiseera kya COVID-19, yayimbanga mmisa ng’asinziira mu maka ge, mu kwongera okukumaakuma abantu ba Katonda,” Bp. Zziwa bw’agambye.
Yasabye abantu okunyweza obumu ng’akabonero ak’okujjukira Omutukuvu Paapa Francis.
Omumyuka w’Omukulembeze w’eggwanga, Rtd. Maj. Gen. Jesca Alupo, yatuusizza obubaka bwa Pulezidenti mu kusaba kuno.
Mu bubaka buno, Pulezidenti yayisizza okusaasira kwe eri Abakristaayo ba Uganda n’ebweru, era n’atendereza Paapa Francis olw’okulwanirira emirembe, obumu n’okutabagana kw’abantu.
Yasabye abantu bonna okutwala Paapa Francis ng’ekyokulabirako ekya bulungi.
Paapa Francis yava mu nsi ku bbalaza nga 21 oluvannyuma lwa Paasika, ng’ali mu myaka 88 egy'obukulu, era nga amaze emyaka 12 ng’aweereza Ekelezia.