Ekkanisa nga weyabadde mu kiseera ky’okusaba, nga yetabidwamu abebitibwa okuva mu Buganda ne Gavumenti, n’abantu ab’enjawulo okuva mu kitundu
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abakkiriza abeetabye mu kusaba kwa Sekukkulu okunyweza obumu. Era abasabye okufumiitiriza ku bubaka bwa Ssaabasajja Kabaka, bweyawadde bwebaba baagala okutambula obulungi mu ggandaalo lino n’omwaka omuggya.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuwadde ng’atuusa obubaka bwa Ssaabasajja Kabaka eri abakkiriza abeetabye mu kitambiro kya mmisa mu Lutikko e Lubaga ku Lwokusatu. Kino kiyimbiddwa Ssaabasumba Paul Ssemogerere.
Owek. Mayiga agamba nti Omutanda yakakasizza nti obulamu bwe bwongedde okutereera. Kyokka, abantu tebasaanye kuggwamu ssuubi era babeere bavumu. Beene yasabye abantu be obutabeera batiitiizi era babeere abalengera ewala, abatava ku mulamwa.
Kamalabyonna annyonnyodde nti Beene yalabudde ku nsonga y’ebigwo abitaggwa mu ntuula za Paalamenti nga zino zituuse nemu nkiiko ezawansi.
Maasomoogi yakubiriza abantu okubeera abengendereza mu kiseera ky’akalulu akasembedde, batunulire abo abasoosowaza ensonga za Buganda mu Uganda eyaawamu.
Okusaba kwa Ssekukkulu, okwakulembeddwamu Ssaabasumba Paul Ssemogerere, kwetabiddwamu abebitibwa okuva mu Gavumenti eya wakati n’ebitundu, wamu n’abantu b’omu kitundu
Obubaka Obw’Enjawulo Obwa Kabaka:
- Obumu: Katikkiro ajjukizza abantu ba Buganda ku mugaso gw’Obumu, nga Ssemasonga ey’okutaano. Agamba nti ebisoomooza tebiggwawo kyokka abantu bwe banaayiga omugaso gw’obumu bajja kutuuka ku buwanguzi obw’enjawulo.
Owek. Mayiga ayongeddeko nti buli muntu asaana okussa ekitiibwa mu balala kye bakiririzaamu, asimbulizza ne ku bigambo bya Ssaabataka ku Matikkira aga 31 nti “Bwetunaabeera Obumu, omulabe ajja kubulwa waayita”
- Kulwanyisa Obwavu: Kabaka yasabye abantu okunyikira okulima emmwanyi, okuganyulwa mu byobulimi, era okuteeka essira ku kuzuula ekituufu ku kikyamu.
- Okukuuma Ennono: Abavubuka baakuutiddwa okwebuza ku bantu abakulu mu byonna bye bakola n’okussa essira ku muwendo gw’ennono n’eby’eddiini.
Owek. Mayiga ayongeddeko nti buli muntu asaana okussa ekitiibwa mu balala kye bakiririzaamu. Era agambye nti ebisoomooza tebiggwawo, naye obumu businga buli kintu okutwala abantu ku buwanguzi.
Mu kwogera kwe, Ssaabasumba Paul Ssemogerere ng’ayigiriza akwesigamizza ku bigambo bya Ppaapa, asabye abakkiriza obutaggwamu ssuubi mu mbeera yonna, era babeere abagumikiriza abawaŋŋana ekitiibwa, okwagalana, ate n’okusiima n’ekyo Katonda ky’abeera abawadde.
Akubirizza abazadde mu luwummula luno okubuulirira abaana, okubakubiriza n’okubayigiriza okukola emirimu olwo babasigemu empisa nga bakyali bato bakule nazo.
Ku lwa Gavumenti eyawakati, Minisita Omubeezi ow’Ebyenjigiriza ebyawaggulu, JC. Muyingo akulisizza abantu okutuuka ku lunaku lwa Ssekukkulu era n’asaba abazadde okulabirira obulungi abaana mu luwummula luno, okubakomako ku nkozesa y’emitimbagano naddala nga babeewaza obuseegu obuyitiriddeko ensangi zino.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'abuuza ku Hon. Kyagulanyi Bobi Wine
Akulira ekibiina ki National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu, naye abadde mu kusaba kuno. Asabye abantu okusabira abo abali mu makomera era ne bekikwatako okussaawo obwenkanya eri abasibe.
Kyagulanyi agambye nti abazadde balina okukozesa eggandaalo lino okuyigiriza abaana empisa n’okubalabirira.
Okusaba kuno okwajuzizza Lutikko wakati mu nkuba ekkedde okutonnya, kwetabiddwamu abantu okuva mu biti eby’enjawulo: Bannaddiini, abakulembeze mu Gavumenti ya Kabaka, Bannabyabufuzi, n’abakulembeze okuva mu Gavumenti eyawakati.
Katikkiro ayagalizza Obuganda olunaku lwa Ssekukkulu olw’emirembe era n’omwaka omuggya omulungi.