
Prince Kassim Nakibinge, First Deputy Katikkiro Hon. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, and Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi arrive for Eid prayers at Kibuli Mosque
Abasiraamu mu Uganda leero bakungaanidde mu mizikiti egy'enjawulo okwetaba mu kusaala kwa Eid El-Fitr, nga bamalirizza ekisiibo eky'omwezi omutukuvu gwa Ramadan.
Ku muzikiti e Kibuli, Jjajja w'Obusiraamu mu Uganda, Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, gy’asinzidde n’avumirira ebikolwa eby’effujjo omuli n’okukuba abantu ebyalabikidde mu kalulu k’okujuza Omubaka wa Kawempe North.
Omulangira Nakibinge avumiridde ebikolwa by’obukambwe era n’asaba abantu obutaleeta nnaku ku bannaabwe nga bawakanya ebiriwo mu ngeri ezikyaamu. Asabye naddala abavubuka okwewala obusungu obusobola okufiiriza obulamu bwabwe.
Mu bubaka bwe, Nakibinge yeebazizza Abasiraamu abataddemu amaanyi okusiiba n'okusinza, n’abasaba okwongera obuntu bulamu n'obutonde obulungi wadde nga ekisiibo kiwedde.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro wa Buganda, Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, naye akwasiddwa ekitibwa mu misaaala eno, era yeeyanze Nnyinimu Kabaka olw’obubaka bwa Eid bwe yawadde Obuganda. Asabye abantu okubwefumiitirizaako ennyo n'okubuteeka mu nkola.
Owek. Kaawaase era yeebazizza Kabaka olw’okulaga obwennyamivu ku ngeri emirimu gya Gavumenti gye gigabibwamu, n’asaba okutereeza ensobi eziriwo.
Yeebazizza era Abasiraamu okwagazisa emirimu gy’Obwakabaka n’asaba buli omu okwetaba mu kujaguza amazaalibwa ga Kabaka, naddala emisinde egitegekeddwa nga 6/4/2025.

Prince Kassim Nakibinge delivers his Eid message to the congregation at Kibuli Mosque
Supreme Mufti Sheikh Muhammad Galabuzi yeebazizza abaddu ba Allah abasiibye mu mwezi gwa Ramadan, n’abasaba okwongera okukola ebirungi. Asabye n'abo Katonda baasinze mu byensimbi okuyamba ku beetaavu.
Sheikh Galabuzi era asabye Gavumenti ne KCCA okugonjoola embeera y’amataba agalabika mu kibuga mu biseera by’enkuba. Agambye nti amataba gano gakosezza nnyo obulamu bw’abantu n’ebintu byabwe era geetaga amagezi mu bwangu.
Okusaala kwa Eid ku muzikiti e Kibuli kwetabiddwamu abakungu bangi, omuli Owek. Hajj Ahmed Lwasa, Owek. Hajj Amiisi Kakomo, Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, Bamasheikh, abakulembeze ba Gavumenti eyawakati, n’abantu abalala.
Oluvannyuma lw’Esswala, Omulangira Nakibinge mu nkola ye eya buli mwaka, agabudde Abasiraamu ekijjulo mu maka ge e Kibuli.