
Nga emu ku ngeri ez’okunyweza obumu mu baweereza ku mirimu gye bakolera, abaweereza mu Minisitule y’Enkulakulana y’Abantu, awamu ne woofiisi ya Maama Nnaabagereka, bajaguzza akabaga akaggalawo omwaka ku Georgina Gardens e Lubya mu Kyaddondo.
Minisita w’Enkulakulana y’Abantu, Oweek. Clotilda Nakate Kikomeko, asiimye nnyo abategesi b’akabaga kano, akagendereddwamu okumanyagana, okunyweza oluganda awamu n’okunyweza obumu mu baweereza abakolera mu bitongole eby’enjawulo ebiri mu minisita eno.
Minisita Nakate yeebazizza nnyo Katonda olw’enkulakulana etuukiddwako omwaka guno, naddala mu woofiisi ya Maama Nnaabagereka, omuli ekisaakaate ekyajjumbirwa enkuyanja y’abantu. Ate n’ayinza okujjukiza nti mu Minisitule y’Enkulakulana y’Abantu, Ssaabasajja Kabaka yasiima n’atandika amasomero 11 ag’abaana abato.
Akulira ensonga z’abakozi mu Bwakabaka, Muky. Josephine Namala, eyabadde omugenyi omukulu ku kabaga kano, atenderezza obumu obwoleseddwa abaweereza ba Minisita eno era n’abeebaza olw’okubererawo Minisita waabwe, Oweek. Nakate, mu ntambuza y’emirimu omwaka guno.

Ssenkulu w’ekitongole kya Nnaabagereka Development Foundation, Omuk. Andrew Adrian Mukiibi, naye asiimye enteekateeka eno era n’eyebaza Katonda olw’ebituukiddwako omwaka guno.
Akabaga kano ketabiddwako abaweereza ab’enjawulo okuva mu minisita n’ebitongole ebigwa mu Minisitule eno.